Psalms 148

1Mutendereze Mukama!

Mumutendereze nga musinziira mu ggulu,
mumutenderereze mu bifo ebiri waggulu.
2 aMumutendereze mmwe mwenna bamalayika be,
mumutendereze mmwe mwenna eggye lye ery’omu ggulu.
3Mmwe enjuba n’omwezi mutendereze Mukama,
nammwe mwenna emmunyeenye ezaaka mumutendereze.
4 bTendereza Mukama ggwe eggulu eriri waggulu ennyo,
naawe amazzi agali waggulu w’eggulu.

5 cLeka byonna bitendereze erinnya lya Mukama!
Kubanga ye yalagira, ne bitondebwa.
6 dYabinywereza ddala mu bifo byabyo ennaku zonna,
n’ateekawo etteeka eritaliggwaawo.

7 eMumutendereze nga musinziira ku nsi,
mmwe balukwata n’ebifo byonna eby’omu buziba bw’ennyanja,
8 fmmwe okumyansa, n’omuzira ogw’amakerenda, n’omuzira ogukutte era n’olufu,
naawe kikuŋŋunta, mugondere ekiragiro kye,
9 gmmwe agasozi n’obusozi,
emiti egy’ebibala n’emivule;
10ensolo ez’omu nsiko era n’ente zonna,
ebyewalula n’ebinyonyi ebibuuka,
11bakabaka b’ensi n’amawanga gonna,
abalangira n’abafuzi bonna ab’ensi,
12abavubuka abalenzi n’abawala;
abantu abakulu n’abaana abato.

13 hBitendereze erinnya lya Mukama,
kubanga erinnya lye lyokka lye ligulumizibwa;
ekitiibwa kye kisinga byonna eby’omu nsi n’eby’omu ggulu.
14 iAbantu be abawadde amaanyi,
era agulumizizza abatukuvu be,
be bantu be Isirayiri abakolagana naye.

Mutendereze Mukama.
Copyright information for LugEEEE